Ecclesiastes 3

Buli Kintu Kirina Ekiseera Kyakyo

1 aBuli kintu kirina ekiseera kyakyo,
na buli ekikolebwa wansi w’eggulu kirina ekiseera kyakyo.

2Waliwo ekiseera eky’okuzaalibwa n’ekiseera eky’okufa;
ekiseera eky’okusimba ate n’ekiseera eky’okukungula ebyo ebyasimbibwa;
3ekiseera eky’okutta n’ekiseera eky’okuwonya;
ekiseera eky’okumenya n’ekiseera eky’okuzimba;
4ekiseera eky’okukaabiramu n’ekiseera eky’okusekeramu;
ekiseera eky’okukungubaga n’ekiseera eky’okuzina;
5ekiseera eky’okusaasaanyizaamu amayinja, n’ekiseera eky’okugakuŋŋaanyizaamu;
ekiseera eky’okugwiramu mu kifuba n’ekiseera eky’okukyewaliramu;
6waliwo ekiseera eky’okunoonyezaamu n’ekiseera eky’okulekeraawo okunoonya;
ekiseera eky’okukuumiramu ekintu n’ekiseera eky’okukisuuliramu;
7 bn’ekiseera eky’okuyulizaamu n’ekiseera eky’okuddabiririzaamu;
ekiseera eky’okusirikiramu n’ekiseera eky’okwogereramu;
8waliwo ekiseera eky’okwagaliramu n’ekiseera eky’okukyayiramu;
ekiseera eky’entalo n’ekiseera eky’eddembe.
9 cDdala omuntu kiki ky’afuna mu kutegana kwe? 10 dNdabye omugugu Katonda gw’atadde ku bantu. 11 eBuli kimu yakikola nga kirungi mu kiseera kyakyo. Kyokka newaakubadde nga Katonda yateeka mu mitima gy’abantu okutegeera obulamu obutaggwaawo, omuntu tayinza kuteebereza mulimu gwa Katonda gwonna, we gutandikira oba we gukoma. 12Mmanyi nga tewali kisingira bantu kusanyuka na kukola bulungi nga balamu. 13 fBuli muntu alyoke alye, anywe afune okwesiima olw’ebyo ebiva mu kutegana kwe, kubanga ekyo kirabo kya Katonda. 14 gMmanyi nga buli Katonda ky’akola kya lubeerera; tekyongerwako, era tewali kikijjibwako. Katonda yakikola bw’atyo, abantu balyoke bamutye.

15 hEkyo ekiriwo ky’amala dda okubaawo;
n’ekyo ekinaaberawo kyabaawo dda;
era Katonda alagira ebyali bibaddewo, ne byongera okubaawo.
16Ate era nalaba nga wansi w’enjuba,

mu kifo ky’okusala amazima waliwo kusaliriza;
ne mu kifo ky’obutuukirivu waliwo bwonoonyi.
17 iNe njogera munda yange nti,

“Katonda aliramula
abatuukirivu n’aboonoonyi;
kubanga yateekawo ekiseera ekya buli kimu;
era na buli mulimu.”
18 jNe ndowooza nti, “Katonda agezesa abaana b’abantu era bajjukire nti nsolo busolo. 19 kKubanga ekituuka ku baana b’abantu kye kituuka ne ku nsolo; omuntu afa, n’ensolo n’efa. Bonna bassa omukka gwe gumu; omuntu talina nkizo ku nsolo. Byonna butaliimu. 20 lBonna bagenda mu kifo kye kimu, bonna bava mu nfuufu era mu nfuufu mwe badda. 21 mAni amanyi obanga omwoyo gw’omuntu gwambuka waggulu, ogw’ensolo gwo ne gukka mu ttaka?”

22 nBwe ntyo nalaba nga tewali kisinga muntu kusanyukira mulimu gwe, kubanga ekyo gwe mugabo gwe. Anti tewali asobola kumukomyawo alabe ebyo ebiribaawo oluvannyuma lwe.

Copyright information for LugEEEE